Ezekiel 31:3-4

3 aTunuulira Obwasuli, ogwali omuvule mu Lebanooni,
nga gulina amatabi amalungi agaasiikirizanga ekibira;
ogwali omuwanvu ennyo,
nga guyitamu ne mu kasolya ak’ekibira.
4Amazzi gaaguliisanga,
n’enzizi ezikka wansi ennyo ne ziguwanvuya,
n’emigga gyagyo
ne gigwetooloola wonna,
ne giweerezanga n’amatabi gaagyo
eri emiti gyonna egy’omu ttale.
Copyright information for LugEEEE